Katikiro Mayiga's inaugural speech 2013
OKWOGERA KWA KATIKKIRO
OKWASOOKA ERI OLUKIIKO LWA BUGANDA, NGA 24 SSEBAASEKA, 2013.
Katikkiro Charles Peter Mayiga eyalangirirwa ku bwa Katikkiro nga 12 Muzigo, 2013 n’akwasibwa DDAMULA nga 29 Muzigo, 2013 leero lwe giweze emyaka ebiri bukyanga ayanjulira Obuganda enteekateeka ze nga 24 Ssebaaseka, 2013. Okwogera
Ekitundu ekisooka;
OKWANIRIZA
Nnyaniriza Abakiise b’ Olukiiko mwenna mu lutuula luno olukulu mwe nsookedde okwogerako eri Obuganda, mu butongole, kasookedde Ssaabasajja Kabaka ankwasa Ddamula.
Nnyaniriza abagenyi abazze okubaawo ng’abajulizi mu lutuula luno. Tubasanyukidde nnyo era twagala akaseera kano ke mutuwadde kababeerere kalungi era nga ka mugaso.
Nnyaniriza abali mu kibanyi. Okuva edda lyonna Olukiiko lwa Buganda lwetabwangamu abantu, abo be baddusanga amawulire mu bwangu ne bagatuusa ku baana ba Kintu, eyo yonna gye basaasaanidde.
Nkulisa Omumyuka wa Sipiika olw’okutuula mu ntebe eyo, ate ku ssaawa eno ng’akolera ddala nga Sipiika, n’asobola okukubiriza Olukiiko lwa Buganda luno Olukulu. Oli mugole mu kifo ekyo, naye emirimu ogiguddeko kiyiifuyiifu, era kirabika obuweereza bwo bugenda kubeera bwa bibala kubanga obutandikidde mu ggiya nnene!
Nsimye nnyo ennyaniriza ey’essanyu n’okwagala okundagiddwa kasookedde nnangirirwa nga Katikkiro omuggya. Buli gyeng’enze yonna nnyaniriziddwa mu ssanyu eribuzeeko katono okummalako ebigambo.
Obubaka bwonna obunjozaayoza, abagenyi abankyalidde n’abankyazizza; ebirabo ebimpeereddwa; essaala ezinsabirwa; obweyamo obumpeereddwa byonna binnywezezza. Omuganda agamba nti: Abataka abaagala…be balima akambugu.
Nfunye obukakafu n’essuubi nti obuvunnaanyizibwa obwankwasiddwa nnina bangi beng’enda okubutuukiriza nabo.
Nneeyanzizza nneeyanzege!
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.
Comments
Post a Comment